0:00
3:02
Now playing: Akaama

Akaama Lyrics by Sama Sojah


Sama Sojah na Washington
Outta Red Zone
Kati ddamu oŋambe akaama
Akaama, akaama
Kandeka mu bbanga nga mpaala
Master Records you know
Akaama
Biribibambaba

Nsiibuza eddoboozi lyo eriwooma (eriwooma)
Nkubya obufaananyi
Nga bwe mbusiiga (hmmm, babe)
Tosiba mutima togukweka
Kubanga mwe mbutimba
Obufaananyi ne bu cinema
Sisobola kulyerabira
Eddoboozi lyo eriwooma okuzaama ah
Lwe waŋamba akaama
Gano amatu wagaleka gasaanuuka

Kati ddamu oŋambe akaama
Akaama, akaama
Kandeka mu bbanga nga mpaala
Akaama, akaama
Hmmm ddamu obuŋŋambe obugambo
Ng’onsiibula, akaama
Nti mperekeraako awo ntyawo
Akaama, akaama

Nebwotatona bingi
Akaama kamala bulungi
Okwo bw’ogattako smile ne design n’onyuma
Katonda yakuwa ka langi
Gano amaanyi g’eddoboozi lyo
Babe ge gansisimula buli kiro, hmmm
Nga mpimapima omukwano gwo
Babe ku minzaani y’eddoboozi lyo
Nandikusabye oba notagenda
Naye abakadde tobanyooma

Kati ddamu oŋambe akaama
Akaama, akaama
Kandeka mu bbanga nga mpaala
Akaama, akaama
Hmmm ddamu obuŋŋambe obugambo
Ng’onsiibula, akaama
Nti mperekeraako awo ntyawo
Akaama, akaama

Biribibambaba

Akaama
Akaama
Sama Sojah na Washington
Akaama
Biribibambaba

Akaama omwoyo ke kagenda nagwo
Nga wadde omubiri kaguleka wano
Akaama n’ekiro ke kampa otulo
Nkalowooza ne nsumagira
Gano amaanyi g’eddoboozi lyo
Babe ge gansisimula buli kiro, hmmm
Nga mpimapima omukwano gwo
Babe ku minzaani y’eddoboozi lyo
Nandikusabye oba notagenda
Naye abakadde tobanyooma

Kati ddamu oŋambe akaama
Akaama, akaama
Kandeka mu bbanga nga mpaala
Akaama, akaama
Hmmm ddamu obuŋŋambe obugambo
Ng’onsiibula, akaama
Nti mperekeraako awo ntyawo
Akaama, akaama

Nsiibuza eddoboozi lyo eriwooma
Nkubya obufaananyi
Nga bwe mbusiiga (hmmm, babe)
Tosiba mutima togukweka
Kubanga mwe mbutimba
Obufaananyi ne bu cinema

Sama Sojah Singles