0:00
3:02
Now playing: Ndi Muntuwo

Ndi Muntuwo Lyrics by Sama Sojah ft. Malaika


Hey Crouch
I got something fi di lyrical gal there
Malaika
Ah di Senator dis
Eeh eh

Sojah
Nkwagala ondi ku mmeeme
Bibyo bino bye neetisse
Tikkula omukwano jangu tunyumirwe
Tulumye abatwekiise
Kabbaani ku ndongo bwetuli
Tukulane tube ba kinvinvi
Ah tuli masavu mucuuzi kinzaali, yeah
Omukwano gunyuma gutyo
Ng’onjagala ng’ate nange nkwagala
Binyuma tukola tutyo
Aweetaaze omunnyo naakwongera, babe

Both
Nalonda kyaggwa dda
Ndi wuwo oli wange (ndi muntu wo)
Kabajje bameka abagagga
Abalungi abasinga gwe (ndi muntu wo)
Nze nalonda kyaggwa dda
Ndi wuwo oli wange (ndi muntu wo)
Kabajje bameka abanyoola ebiwato
Nebasinga enje (ndi muntu wo)

Malaika
Nze tongerageranya kw’abo abaakusookako
Abaamenya omutima gwo nebakulekawo
Ofunye tender lover eyatuuzibwa ah
Bwolirera Wasswa nze ndirera Kato
Ebitanyuma netubirekawo
Tebakuwa ekiwagu nebakulesa enkota
Abaafa baapapa
Baalibaddewo nebalaba ku mwana ono
Nga tekisangika omulenzi ow’empisa
Omuto ng’ate mbooko, babe

Both
Nze nalonda kyaggwa dda
Ndi wuwo oli wange (ndi muntu wo)
Kabajje bameka abanyoola ebiwato
Nebasinga enje (ndi muntu wo)
Nalonda kyaggwa dda
Ndi wuwo oli wange (ndi muntu wo)
Kabajje bameka abagagga
Abalungi abasinga gwe (ndi muntu wo)

Both
Gw’omuyimbi wange asingayo
Ngiiyiza akayimba kenzinirako oh
Nga buli lw’okateekako
Ebibadde binkozza kabimalawo
Kabbaani ku ndongo bwetuli
Tukulane tube ba kinvinvi
Ah tuli masavu mucuuzi kinzaali, yeah
Omukwano gunyuma gutyo
Ng’onjagala ng’ate nange nkwagala
Binyuma tukola tutyo
Aweetaaze omunnyo naakwongera, babe

Both
Nalonda kyaggwa dda
Ndi wuwo oli wange (ndi muntu wo)
Kabajje bameka abagagga
Abalungi abasinga gwe (ndi muntu wo)
Nze nalonda kyaggwa dda
Ndi wuwo oli wange (ndi muntu wo)
Kabajje bameka abanyoola ebiwato
Nebasinga enje (ndi muntu wo)

Sama Sojah Singles