0:00
3:02
Now playing: Kampala

Kampala Lyrics by Sama Sojah


Ha!
Eddie Dee
Ah Di Lyrical Senator
Red Zone
Ah deh baddest government
Sama Sojah make tell dem know

Akwagala akola atya, akola atya?
Ddala omanya otya?
Nakwegomba dda dda dda nnyo
Nga Weasel tannaba kuba star
Kati nnyabo ndi ku command zo
Wano ky’oyogera ky’ekikola
Cadet wo amanyi ebiragiro
Ky’omugamba ky’ekikolwa
Nze ne bw’ontuma ku bigere e Jamaica
Ŋŋenda ne nzira kasita onsuubiza
Nti akayimba bwe naakayimbamu
Ak’omukwano on’ombiibiza

Nti gwe baakutonda kutemagana
Kunyumisa kibuga Kampala
Baakubajja kutunyumira
Ndowooza ky’ekitone ky’olina
Ah baakutonda kutemagana
Kunyumisa kibuga Kampala
Ndowooza baakubajja kutunyumira
Nga ky’ekyo ekitone ky’olina

Wanzigya omutima mu kifuba gundi mu ttama
(Ssaawa yonna ngulya my girl)
Obwongo buno waddira kajiiko n’obutabula
Onzijukiza akayimba Obangaina
Bwe kaakubanga gaabanga masanyu kwetala
Onzijukiza ebbaluwa ze nasindikanga, zootanziriza
Akwagala akola atya, akola atya?
Omanya otya?
Akwagala akola atya, akola atya?
Ddala omanya otya?

Nti gwe baakutonda kutemagana
Kunyumisa kibuga Kampala
Baakubajja kutunyumira
Ndowooza ky’ekitone ky’olina
Ah baakutonda kutemagana
Kunyumisa kibuga Kampala
Ndowooza baakubajja kutunyumira
Nga ky’ekyo ekitone ky’olina

Tukole ebiwandiiko Erias tumuloope
Olw’ekibuga kye okiwoomya ennyo
Asaanye akusasule
Kuba wafuuka kimuli
Ekisikiriza buli ayita
Herbert Skillz on this one
Obulungi buva ku ngulu
Kyokka n’omutima gwa pure ah ha
Akwagala akola atya, akola atya?
Omanya otya?
Akwagala akola atya, akola atya?
Ddala omanya otya?

Nti gwe baakutonda kutemagana
Kunyumisa kibuga Kampala
Baakubajja kutunyumira
Ndowooza ky’ekitone ky’olina
Ah baakutonda kutemagana
Kunyumisa kibuga Kampala
Ndowooza baakubajja kutunyumira
Nga ky’ekyo ekitone ky’olina
Eddie Dee

Sama Sojah Singles