0:00
3:02
Now playing: Money [sente]

Money [sente] Lyrics by Sama Sojah


Dr. Fizol
Amberstunt Sama Sojah
Money money money money
Weh you come from? (Skillah)
Frontline Records we there outta
Eeeh yeah
Dis a Genhausyd you know?

Oli mugenyi gwe twetegekeranga awaka
Buli lukya tukusuubira
Nga tutambulira mu ssaala
Taata y’agumya naye yali akusuubira
Eka gye nakulira yo tewatuukayo
Ne gye nasomeranga tewayitayo
Enjala waginsuza, n’otulo watumbuza
Nga nindirira lw’olijja

Mukwano gwo y’ani money?
Aah naye ssente!
Wakyala w’ani money?
Oli biki ssente?
Money (money)
Money (money)
Aah naye ssente!
Mukwano gwo y’ani money?
Oli biki ssente?

Emikwano mingi gy’oyawuddemu (gy’oyawuddemu)
Abalala obulamu n’obubabbako (n’obubabbako)
Kituufu ki kye baakukwekamu?
Ekituusa n’abooluganda okutemagana (hmmm)
Toli mazzi naye otukuza abantu ensonyi baazinaaba
Ne bakyala baffe babatubbako ndowooza olaba bw’otujooga

Mukwano gwo y’ani money?
Aah naye ssente!
Wakyala w’ani money?
Oli biki ssente?
Money (money)
Money (money)
Aah naye ssente!
Mukwano gwo y’ani money?
Oli biki ssente?

Business zaffe ozisombye oziwa bbanka
Bakutuwola netulemererwa
Obukyayi n’enguzi bino by’osize mu ggwanga lyange
Ani alibisasulira?
Ffe watukuliza ku muwogo na lumonde
Amannya bakutuuma mangi buli gyendaze
Nnoonya mukwano gwo omutuufu akyambuze
Ne ba Sudhir bempita ababo obalumisa mitwe

Mukwano gwo y’ani money?
Gwe eyaleetawo eggayaŋŋano
Abantu okwezalawa
Wakyala w’ani money?
Ettemu n’okuttiŋŋana
Amazima mu kkooti n’ogagulayo
Money, money
Kati obulimba bwayitirira
Katonda omutwerabiza
Mukwano gwo y’ani money?
Abasumba baneneŋŋana
Omutuufu n’omukyamu bibuzaabuza

Mukwano gwo y’ani money?
Gwe wandiba Katonda tomutya
N’amakanisa ogatabula
Wakyala w’ani money?
Yesu naye gwe eyamutunda
Ku musaalaba akomererwe
Money, money
N’abakulina bakyanoonya
Kyokka teri gw’oligenda naye
Mukwano gwo y’ani money?
Money you’re sweet, you’re bitter
Eh Troyton
Dr. Fizol

Sama Sojah Singles