0:00
3:02
Now playing: Olukoba

Olukoba Lyrics by Winnie Nwagi


Bw’osibanga onyweza
Luno olukoba lwe ŋŋamba
Baaba bw’osibanga onyweza
Winnie Nwagi
Costa

Tolutya ne luta olukoba
Tolutya ne luta olukoba
Tolutya ne luta olukoba
Tolutya ne luta olukoba
Tolutya ne luta olukoba nelupasuka
Tolutya ne luta olukoba nelupasuka
Tolutya ne luta olukoba nelupasuka
Nelupasuka baaba

Siba kiwato nywera
Kati nywera wasalawo nywera
Kibuyaga ng’akunta
Ng’akunta ng’asazeewo kkunta
Engoye oziwumbawumbanga
N’ozikuŋŋanya
Gwe notaweebuuka
Akalya amaggwa kekagamanya
Akalya amaggwa kekagamanya
Munnange akalya amaggwa kekagamanya enkyusa
Ne bbaawo gw’omumanyi enkwata
Bw’anyiiga omuwumbawumbanga
N’omuzza
Mu mutima

Ensawo ya bbaawo ogiddaabirizanga
Tesuula ezo ezinaagula ennyama
Ebyama bya bbaawo bambi ozibiranga
Tuma nze awo
Amaanyi mwammanya
Nkimanyi temwakula mwenna
Nga naye fuba fuba
Fuba okumumanya okumamanya
Byatayagala
Ng’ebyo obireka
Byasiimye
Ng’awo oseesa
Omukwano
Nga gubumbujja
Olwo olyoke olabe eddya

Mwana wa mmange toluta olukoba
Toluta olukoba mwana wange
Mwana wange munnange
Ne lupasuka

Agenda n’ekitiibwakyo
N’abamwegomba ng’olwo bawera (ng’olwo bawera)
Ng’omumyumyula
Ng’onyweza
Ng’ensaalwa ebatta (ng’ensaalwa ebatta)
Kyatamanyi nga gw’osomesa
Omuntu akwagala takula na mpaka
Naawe bw’akusomesa n’okwata kimusanyusa
Kimuwa essanyu mu maka
Tolemera ku nsonga bw’aba yetonze
Ate tolaga busungu bw’oba onyiize (mwana wange)
Oggulangawo bugguzi kisenge ne muteesa
Eby’amaka bibeera bya kuteesa eh

Na na na na na na
Luno olukoba olukoba
Mwana munnange
Nze nkugambye munnange

Winnie Nwagi Singles