0:00
3:02
Now playing: Oli Kirabo

Oli Kirabo Lyrics by Winnie Nwagi

He-e-e-y
Huh!
Winnie Nwagi
Ebintu by'omutima, biba bizibu manya okutegeera
Kyegutayagala, ne kyegwagala sikyangu kuteberebeza omanyi
Naye nga gwasimye ne gwagala, gusimbawo gwe amakanda
Era Ky'ova olaba mu birowoozo byange, obeera onzijjira
Bibala bya ssala zange bye nassaba Katonda, yegwe
Era obudde nebuziba nga sikulabyeko, mbeera ntyo ntyo ntyo
Nayitawo okwagala, nakusiriwala
Kyekyo lwaki nkulondola
Gwe bulamu bwange, oli future yange
Gwe kirabo kyange
Katonda kyeyampa, kyeyantondera
Gwe mwami wange
Gwe mwami wange Katonda gweyantondera (oli kirabo)
Oli matiribona ebibala byessala zange (oli kirabo)
Gwe mwami wange Katonda gweyantondera (oli kirabo)
Oli matiribona ebibala byessala zange (oli kirabo)
N'omala ogezza, n'ova wendi oti, nsigala mu kusikirize
Nanti omutima, ogutute
Oli ntununsi, nze mutima
Ogwange kwezikubira
Buli lwondeka, nsigala mu kiwubalo
Nkwagala ebyadala, m'mutima
Mpulira nkusubwa wotoli
Gwe wange, yeah
Huh! Mukama ya ntunulira n'angemulira
Nga alaba mbonabona
Bw'atyo n'ampa gwe, obere wange
Gwe mwami wange Katonda gweyantondera (oli kirabo)
Oli matiribona ebibala byessala zange (oli kirabo)
Gwe mwami wange Katonda gweyantondera (oli kirabo)
Oli matiribona ebibala byessala zange (oli kirabo)
I love you, I love you, hmm
It's my dedication, to you my love, love
Buli lunaku, olukya, nyongera ku kwagala
Era mu bulamu bwange simanyi kyewanffukira!
Kansabbe Ddunda, nannyini kumpa
Era akunkumire
Kubanga wafuka part of life
Gwe wotali siyinza
Abo abakulimba, tunula eno ewange
Nze oyo akwagala
From the Genesis mpaka okukoma kwensi
Sirirya bigambo byange
Gwe mwami wange Katonda gweyantondera (oli kirabo)
Oli matiribona ebibala byessala zange (oli kirabo)
Sirirya bigambo byange
Gwe mwami wange
Gwe mwami wange (oli kirabo)

Winnie Nwagi Singles