0:00
3:02
Now playing: Corona

Corona Lyrics by Ykee Benda ft. Feffe Bussi, King Saha, Joanita Kawalya, B2C, Dre Cali, Myco Ouma, Jose Sax


Ykee Benda
Munnayuganda munnange
Corona is here and it is real
Tolyamu munnayuganda munno lukwe
Bw’oba osobola sigala ewaka
Bikka ku mumwa gwo
Naaba mu ngalo
Corona is here and it is reeeal!
Mpaka Sounds

\n

King Saha & Ykee Benda
Uganda, Uganda
Zuukuka, zuukuka
Uganda, Uganda
Tusabiragane Uganda
Uganda, Uganda
Ekirwadde kizze okutuyuza
Uganda, Uganda

\n

Ykee Benda
Uganda, Uganda
Oh munnayuganda weewale corona
Uganda, Uganda
Oh omwana w’eka weewale corona
Omulabe tulina omu
Tulina omu
Olutalo tulina lumu
Tulina lumu
Buli omu abe musawo we
Abe musawo we
Uganda tukwatire wamu
Tukwatire wamu

\n

Dre Cali
Akolola mubeere wala
Ka mask kateeke ku mumwa
N’eniimu tekubeera wala
Okunaaba kwa kwettanira
Kati naaba engalo
Tokolola mu banno
Twewale omunyigo
Sigala ku kazigo
Bw’oba otambudde
Sanitize to minimize
Don’t you touch your eyes

\n

Feffe Bussi
FBM yo
Wamma Sophie
Kino ekirwadde ssi corona coffee
Tell your husband please tell your wifey
Cause everybody need to protect their lifey
Yo, kino ekirwadde kiri viral
Kifaanana biri bye nasoma mu Bible
Teweetaaga mmundu oba rifle
But stay safe for your survival
Feffe Bussi say so

\n

Ykee Benda
Uganda, Uganda
Oh munnayuganda weewale corona
Uganda, Uganda
Oh omwana w’eka weewale corona
Omulabe tulina omu
Tulina omu
Olutalo tulina lumu
Tulina lumu
Buli omu abe musawo we
Abe musawo we
Uganda tukwatire wamu
Tukwatire wamu

\n

Mr. Lee
Twekwase Katonda y’asobola
Ebigaanye abimala
Corona ky’ekizibu
Naye ate tukisinga obuzibu
Bw’osalawo amazima n’okikola
Tumukoona amagulu, hmmm yeah
Obugalo bukuume buyonjo
Omulwadde tomukweka muweeyo mu lwatu

\n

Bobby Lash
Let dem know, let dem know know know
New Generation we’re educating
Wash your hands never forget it
Musajja mukulu corona loosing
Social distance, ah standing

\n

Julio
Akawuka katambulira ku ngalo zaffe
Kasaasaanyizibwa bantu baffe
Tewecanga tobivaako muntu wange
Bye tukugamba biyamba ggwanga lyaffe

\n

B2C
Kati naaba engalo, wekuume
Beera ewuwo
Tokuŋaana, tokuŋaanya banno naawe leka

\n

Ykee Benda
Uganda, Uganda
Oh munnayuganda weewale corona
Uganda, Uganda
Oh omwana w’eka weewale corona
Omulabe tulina omu
Tulina omu
Olutalo tulina lumu
Tulina lumu
Buli omu abe musawo we
Abe musawo we
Uganda tukwatire wamu
Tukwatire wamu

\n

Joanita Kawalya
Abazadde kino kirumbye tusinziire
Nga bannakazadde b’eggwanga nsaba tusituke
Obuyonjo y’emu ku nkola, ezitangira kino
N’olwekyo tunyiikire, okugondera okuwabulwa
Nkubiriza abavubuka, obutataayaaya
N’abato munaabe engalo nga tonazannya, n’oluvannyuma
Abato munaabe engalo nga tonazannya, n’oluvannyuma

\n

King Saha
Eh, eno ssi mboozi
Ssi mboozi
Eno ssi mboozi, eh
Uncle ne jajja
Ndijja ne mbalaba
Mbadde neetegeka naye bino kabimale okuggwa
Twerinda naye nammwe mwerinde
Twekuuma naye nammwe mwekuume

\n

Ykee Benda & King Saha
Uganda, Uganda
Oh munnayuganda weewale corona
Uganda, Uganda
Oh omwana w’eka weewale corona
Ŋamba mmwe abaana ab’eka eno
Uganda, Uganda
Mwekuume muwone ekirwadde ekyo
Uganda, Uganda

\n

Ykee Benda
Stand up and fight it
Uganda stand up and fight it
Stand up and lead it, lead corona
Out of Uganda, oh yeah
Stand up and fight it
Stand up and fight it
Stand up and lead it, lead corona
Out of Uganda, oh yeah
Oh Lord


Feffe Bussi Singles