0:00
3:02
Now playing: Muntu Wange

Muntu Wange Lyrics by Spice Diana ft. Chosen Blood


Gwe weeyagale n′omuntu wo
Chosen Blood
Neeyagala na muntu wange
Spice Diana
Weeyagale n'omuntu wo alo
Eli Arkhis Music

Tweyagala nnyo era tetuli na ku bigambo
Ffe tumanyi amakulu agali mu bufumbo
Twekuuma nnyo era tetuli na ku bigambo
Ffe tumanyi amasanyu agali mu bufumbo ho!

Kuba tumanyi gye tuvudde
Era tumanyi we tutuuse
Okunyiiga tukuzza bbali ne tukwatagana

Nkusaba weeyagale n′omuntu wo
Nina baby wange
Mugabane ne ku bintu byo
Muwa n'ebintu byange
Nkusaba weeyagale n'omuntu wo
Nina baby wange
Mugabane ne ku bintu byo
Muwa n′ebintu byange

Gwe weeyagale n′omuntu wo eyo
Neeyagala n'omuntu wange
Weeyagale n′omuntu wo alo, oh babe
Omulungi muwe okutu
Face ye gyetimbe nga tattoo
Tomucanga ng'amatatu
Tomusuula ddalu

Ojjukira lwe wanyiiga n′ovuma munno?
Ojjukira luli lwe walangira munno? (n'omulabisa)
Sso ate bwe walwala wajjanjabwa munno!
Jjukira amaziga ng′okaabira munno
(Nti osanga akiiwa)
Kati osazeewo okusanyuka ng'osanyuka ne munno

Nkusaba weeyagale n'omuntu wo
Nina baby wange
Mugabane ne ku bintu byo
Muwa n′ebintu byange
Nkusaba weeyagale n′omuntu wo
Nina baby wange
Mugabane ne ku bintu byo
Muwa n'ebintu byange

Oh baby
Tweyagala nnyo era tetuli na ku bigambo
Ffe tumanyi amakulu agali mu bufumbo
Twekuuma nnyo era tetuli na ku bigambo
Ffe tumanyi amasanyu agali mu bufumbo, yeah eh
Gwe weyagale n′omuntu wo eyo
Neeyagala na muntu wange
Weeyagale n'omuntu wo alo

Nkusaba weeyagale n′omuntu wo
Nina baby wange
Mugabane ne ku bintu byo
Muwa n'ebintu byange
Nkusaba weeyagale n′omuntu wo
Nina baby wange
Mugabane ne ku bintu byo
Muwa n'ebintu byange

Route Music

Spice Diana Singles